Add parallel Print Page Options

Omwaka ogw’Okusonyiyirwangamu Amabanja

15 (A)Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. (B)Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule[a], naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga. (C)Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, (D)kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. (E)Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.

(F)Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. (G)Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. (H)Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 10 (I)Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 11 (J)Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.

Okuwa Eddembe Abaddu Abagule

12 (K)Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. 13 Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. 14 Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. 15 (L)Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.

16 Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; 17 kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga[b] mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.

18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.

Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa

19 (M)Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. 20 (N)Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. 21 (O)Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo. 22 (P)Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. 23 (Q)Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.

Footnotes

  1. 15:3 Obutafaanana ng’Abayisirayiri, bannaggwanga baalimanga ettaka lyabwe omwaka ogwo; noolwekyo baasobolanga okusasula amabanja gaabwe.
  2. 15:17 Okuwumula okutu kaali nga kabonero ka buddu.

The Year for Canceling Debts(A)

15 At the end of every seven years you must cancel debts.(B) This is how it is to be done: Every creditor shall cancel any loan they have made to a fellow Israelite. They shall not require payment from anyone among their own people, because the Lord’s time for canceling debts has been proclaimed. You may require payment from a foreigner,(C) but you must cancel any debt your fellow Israelite owes you. However, there need be no poor people among you, for in the land the Lord your God is giving you to possess as your inheritance, he will richly bless(D) you, if only you fully obey the Lord your God and are careful to follow(E) all these commands I am giving you today. For the Lord your God will bless you as he has promised, and you will lend to many nations but will borrow from none. You will rule over many nations but none will rule over you.(F)

If anyone is poor(G) among your fellow Israelites in any of the towns of the land the Lord your God is giving you, do not be hardhearted or tightfisted(H) toward them. Rather, be openhanded(I) and freely lend them whatever they need. Be careful not to harbor this wicked thought: “The seventh year, the year for canceling debts,(J) is near,” so that you do not show ill will(K) toward the needy among your fellow Israelites and give them nothing. They may then appeal to the Lord against you, and you will be found guilty of sin.(L) 10 Give generously to them and do so without a grudging heart;(M) then because of this the Lord your God will bless(N) you in all your work and in everything you put your hand to. 11 There will always be poor people(O) in the land. Therefore I command you to be openhanded toward your fellow Israelites who are poor and needy in your land.(P)

Freeing Servants(Q)(R)

12 If any of your people—Hebrew men or women—sell themselves to you and serve you six years, in the seventh year you must let them go free.(S) 13 And when you release them, do not send them away empty-handed. 14 Supply them liberally from your flock, your threshing floor(T) and your winepress. Give to them as the Lord your God has blessed you. 15 Remember that you were slaves(U) in Egypt and the Lord your God redeemed you.(V) That is why I give you this command today.

16 But if your servant says to you, “I do not want to leave you,” because he loves you and your family and is well off with you, 17 then take an awl and push it through his earlobe into the door, and he will become your servant for life. Do the same for your female servant.

18 Do not consider it a hardship to set your servant free, because their service to you these six years has been worth twice as much as that of a hired hand. And the Lord your God will bless you in everything you do.

The Firstborn Animals

19 Set apart for the Lord(W) your God every firstborn male(X) of your herds and flocks.(Y) Do not put the firstborn of your cows to work, and do not shear the firstborn of your sheep.(Z) 20 Each year you and your family are to eat them in the presence of the Lord your God at the place he will choose.(AA) 21 If an animal has a defect,(AB) is lame or blind, or has any serious flaw, you must not sacrifice it to the Lord your God.(AC) 22 You are to eat it in your own towns. Both the ceremonially unclean and the clean may eat it, as if it were gazelle or deer.(AD) 23 But you must not eat the blood; pour it out on the ground like water.(AE)