Add parallel Print Page Options

13 (A)Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, (B)era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), (C)towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna.

Read full chapter

(A)Ddala kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, “Temukkiriza bannabbi n’abalaguzi abali mu mmwe kubalimbalimba. Temussaayo mwoyo ku birooto byabwe bye babalootolola.

Read full chapter

Okufuga kwa Osunieri

(A)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera.

Read full chapter

33 (A)Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi[a] katonda waabwe. 34 (B)Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:33 Baaluberisi yali lubaale ng’essabo lye liri mu Sekemu