Add parallel Print Page Options

12 (A)Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe.

Read full chapter

(A)Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.

Read full chapter

27 (A)Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.

Read full chapter

Abaleevi Bakabona

18 (A)Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.

Read full chapter

33 (A)Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.

Read full chapter

28 (A)“ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe.

Read full chapter