Ekyamateeka Olwokubiri 10:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero.
Read full chapter
1 Peetero 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.
Read full chapter
Okuva 19:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 7:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.