Ebyabaleevi 20:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 7:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 26:18-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. 19 (B)Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.