Add parallel Print Page Options

15 (A)“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri[a]. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu

14 (A)Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume y’ente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi.

Read full chapter

(A)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi.

Read full chapter