Add parallel Print Page Options

(A)“Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange n’obwegendereza, (B)nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. (C)Munaawuulanga okutuusa ku makungula g’emizabbibu, n’okukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera eby’okusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe.

(D)“Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo. Munaawonderanga abalabe bammwe ne mubatta n’ekitala ne mubawangula. (E)Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe n’ekitala.

(F)“Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga. 10 (G)Munaabanga mukyalya ku makungula ag’omwaka oguyise ne mugafulumya olw’amakungula amaggya. 11 (H)Ekifo kyange eky’okubeeramu nnaakiteekanga mu mmwe, era omutima gwange teguubatamwenga. 12 (I)Nnaatambuliranga mu mmwe, era nnaabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange. 13 (J)Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, mulyoke mukome okuba abaddu b’Abamisiri; namenya ebikoligo byammwe ne mbasobozesa okutambula nga mwesimbye.

Read full chapter

Emikisa Eri Abawulize

28 (A)Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. (B)Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga:

(C)Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo.

(D)Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo.

Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa.

(E)Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma.

(F)Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.

Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa.

(G)Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. 10 (H)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. 11 (I)Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.

12 (J)Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. 13 Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. 14 (K)Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga.

Read full chapter

(A)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
(B)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
    era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.

Read full chapter