Add parallel Print Page Options

Embaga ey’Amakondeere

23 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 24 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka. 25 (B)Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.”

Read full chapter

Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere

29 (A)“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. (B)Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. (C)Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. (D)Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.

Read full chapter

11 (A)Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira.

Read full chapter