Add parallel Print Page Options

Obutukuvu bw’Obwakabona

21 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be, wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu. Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be. (B)Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe. (C)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu. (D)Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe. (E)Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu. (F)Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.

10 (G)“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye. 11 (H)Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina. 12 (I)Era n’ekifo kya Mukama ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda. 13 (J)Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. 14 Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be; 15 aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”

Bakabona Abaliko Akamogo

16 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 17 (K)“Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we. 18 (L)Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu; 19 oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala, 20 (M)oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi. 21 Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we. 22 (N)Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we; 23 naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”

24 Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.

Rules for Priests

21 The Lord said to Moses, “Speak to the priests, the sons of Aaron,(A) and say to them: ‘A priest must not make himself ceremonially unclean(B) for any of his people who die,(C) except for a close relative, such as his mother or father,(D) his son or daughter, his brother, or an unmarried sister who is dependent on him since she has no husband—for her he may make himself unclean.(E) He must not make himself unclean for people related to him by marriage,[a] and so defile himself.

“‘Priests must not shave(F) their heads or shave off the edges of their beards(G) or cut their bodies.(H) They must be holy to their God(I) and must not profane the name of their God.(J) Because they present the food offerings to the Lord,(K) the food of their God,(L) they are to be holy.(M)

“‘They must not marry women defiled by prostitution or divorced from their husbands,(N) because priests are holy to their God.(O) Regard them as holy,(P) because they offer up the food of your God.(Q) Consider them holy, because I the Lord am holy—I who make you holy.(R)

“‘If a priest’s daughter defiles herself by becoming a prostitute, she disgraces her father; she must be burned in the fire.(S)

10 “‘The high priest, the one among his brothers who has had the anointing oil poured on his head(T) and who has been ordained to wear the priestly garments,(U) must not let his hair become unkempt[b] or tear his clothes.(V) 11 He must not enter a place where there is a dead body.(W) He must not make himself unclean,(X) even for his father or mother,(Y) 12 nor leave the sanctuary(Z) of his God or desecrate it, because he has been dedicated by the anointing oil(AA) of his God. I am the Lord.

13 “‘The woman he marries must be a virgin.(AB) 14 He must not marry a widow, a divorced woman, or a woman defiled by prostitution, but only a virgin from his own people, 15 so that he will not defile his offspring among his people. I am the Lord, who makes him holy.’”

16 The Lord said to Moses, 17 “Say to Aaron: ‘For the generations to come none of your descendants who has a defect(AC) may come near to offer the food of his God.(AD) 18 No man who has any defect(AE) may come near: no man who is blind(AF) or lame,(AG) disfigured or deformed; 19 no man with a crippled foot or hand, 20 or who is a hunchback or a dwarf, or who has any eye defect, or who has festering or running sores or damaged testicles.(AH) 21 No descendant of Aaron the priest who has any defect(AI) is to come near to present the food offerings to the Lord.(AJ) He has a defect; he must not come near to offer the food of his God.(AK) 22 He may eat the most holy food of his God,(AL) as well as the holy food; 23 yet because of his defect,(AM) he must not go near the curtain or approach the altar, and so desecrate my sanctuary.(AN) I am the Lord, who makes them holy.(AO)’”

24 So Moses told this to Aaron and his sons and to all the Israelites.

Footnotes

  1. Leviticus 21:4 Or unclean as a leader among his people
  2. Leviticus 21:10 Or not uncover his head