Add parallel Print Page Options

23 (A)Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.

Read full chapter

(A)Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.

Read full chapter

12 (A)Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira.

Read full chapter

28 Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.

Read full chapter

Ekiragiro eky’Okubeeranga Abatukuvu

22 (A)“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.

Read full chapter