Add parallel Print Page Options

15 (A)“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu.

Read full chapter

(A)Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.

Read full chapter

(A)kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.

Read full chapter

19 (A)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 23:19 Okufumba akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako yali mpisa y’Abakanani

26 (A)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.

“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

Read full chapter