Add parallel Print Page Options

25 (A)“Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. 26 Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. 27 Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. 29 (B)Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 30 (C)Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.

Read full chapter

25 “‘When a woman has a discharge of blood for many days at a time other than her monthly period(A) or has a discharge that continues beyond her period, she will be unclean as long as she has the discharge, just as in the days of her period. 26 Any bed she lies on while her discharge continues will be unclean, as is her bed during her monthly period, and anything she sits on will be unclean, as during her period. 27 Anyone who touches them will be unclean; they must wash their clothes and bathe with water, and they will be unclean till evening.

28 “‘When she is cleansed from her discharge, she must count off seven days, and after that she will be ceremonially clean. 29 On the eighth day she must take two doves or two young pigeons(B) and bring them to the priest at the entrance to the tent of meeting. 30 The priest is to sacrifice one for a sin offering and the other for a burnt offering. In this way he will make atonement for her before the Lord for the uncleanness of her discharge.(C)

Read full chapter