Add parallel Print Page Options

34 (A)“Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ez’omu nsi eyo, 35 kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga n’ategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ng’omuli obulwadde.’ 36 Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba n’agikebera. 37 (B)Anaanoonyanga obulwadde we buli; bw’anaabusanganga ku bisenge by’ennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge, 38 (C)olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu. 39 (D)Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba eyo, 40 (E)kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 41 Era anaalagiranga ebisenge byonna eby’omu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu. 42 Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo by’agali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna n’ekubibwa omusenyu.

43 “Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lw’ennyumba okugiggyamu amayinja gali, n’okugikalakata era n’okugikubako omusenyu omuggya, 44 (F)kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanye mu nnyumba, ng’ebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu. 45 Anaalagiranga ennyumba eyo n’emenyebwawo, amayinja gaayo n’embaawo zaayo n’omusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru w’ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.

Read full chapter

(A)Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
    azimba ekisu kye waggulu,
    okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 (B)Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
    n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 (C)Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
    n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

Read full chapter

(A)“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter