Add parallel Print Page Options

Okutukuzibwa Oluvannyuma lw’Okuzaala

12 Mukama n’agamba Musa nti, (A)“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. (B)Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga. Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko. Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.

(C)“ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala.

“ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala. (D)Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”

Purification After Childbirth

12 The Lord said to Moses, “Say to the Israelites: ‘A woman who becomes pregnant and gives birth to a son will be ceremonially unclean for seven days, just as she is unclean during her monthly period.(A) On the eighth day(B) the boy is to be circumcised.(C) Then the woman must wait thirty-three days to be purified from her bleeding. She must not touch anything sacred or go to the sanctuary until the days of her purification are over. If she gives birth to a daughter, for two weeks the woman will be unclean, as during her period. Then she must wait sixty-six days to be purified from her bleeding.

“‘When the days of her purification for a son or daughter are over,(D) she is to bring to the priest at the entrance to the tent of meeting a year-old lamb(E) for a burnt offering and a young pigeon or a dove for a sin offering.[a](F) He shall offer them before the Lord to make atonement for her, and then she will be ceremonially clean from her flow of blood.

“‘These are the regulations for the woman who gives birth to a boy or a girl. But if she cannot afford a lamb, she is to bring two doves or two young pigeons,(G) one for a burnt offering and the other for a sin offering.(H) In this way the priest will make atonement for her, and she will be clean.(I)’”

Footnotes

  1. Leviticus 12:6 Or purification offering; also in verse 8