Add parallel Print Page Options

11 Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo.

Read full chapter

Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu

24 “Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 25 (A)Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26 “Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27 Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.

29 (B)“Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri; 30 anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu. 31 Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32 (C)Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga. 33 (D)Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga. 34 Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu. 35 Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli. 36 Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu. 37 Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu. 38 Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.

39 “Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40 (E)Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.

Read full chapter

(A)Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.

Read full chapter