Add parallel Print Page Options

14 (A)“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 (B)Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 (C)Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 (D)Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

Read full chapter

26 (A)Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ng’amasavu olw’ekiweebwayo olw’emirembe bwe ganaayokebwanga. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olw’ekibi kye, n’asonyiyibwa.

Read full chapter