Ebikolwa by’Abatume 9:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 1:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 28:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.