Ebikolwa by’Abatume 18:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 24:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 26:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’
Read full chapter
Abaefeso 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okusaba kwa Pawulo
15 (A)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna,
Read full chapter
Abakkolosaayi 2:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Read full chapter
Firemooni 5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.