Add parallel Print Page Options

22 (A)Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba.

Read full chapter

24 (A)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.

Read full chapter

46 (A)Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.

Read full chapter

16 (A)Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.

Read full chapter