Ebikolwa by’Abatume 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 2:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 10:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 13:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana.
Read full chapter
Abaggalatiya 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
Read full chapter
1 Peetero 2:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.