Add parallel Print Page Options

23 (A)Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” (B)Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. (C)Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”

Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”

(D)Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”

(E)Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, (F)kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.

(G)Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 (H)Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.

11 (I)Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”

Olukwe Okutta Pawulo

12 (J)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo! 13 Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana. 14 (K)Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo. 15 (L)Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”

16 (M)Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.

17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 (N)Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”

19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”

20 (O)Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 (P)Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”

22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”

Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya

23 (Q)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (R)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:

26 (S)Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.

27 (T)Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 (U)Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 (V)Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 (W)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.

31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 (X)Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 (Y)Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 (Z)Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 (AA)Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

23 Paul looked straight at the Sanhedrin(A) and said, “My brothers,(B) I have fulfilled my duty to God in all good conscience(C) to this day.” At this the high priest Ananias(D) ordered those standing near Paul to strike him on the mouth.(E) Then Paul said to him, “God will strike you, you whitewashed wall!(F) You sit there to judge me according to the law, yet you yourself violate the law by commanding that I be struck!”(G)

Those who were standing near Paul said, “How dare you insult God’s high priest!”

Paul replied, “Brothers, I did not realize that he was the high priest; for it is written: ‘Do not speak evil about the ruler of your people.’[a](H)

Then Paul, knowing that some of them were Sadducees(I) and the others Pharisees, called out in the Sanhedrin, “My brothers,(J) I am a Pharisee,(K) descended from Pharisees. I stand on trial because of the hope of the resurrection of the dead.”(L) When he said this, a dispute broke out between the Pharisees and the Sadducees, and the assembly was divided. (The Sadducees say that there is no resurrection,(M) and that there are neither angels nor spirits, but the Pharisees believe all these things.)

There was a great uproar, and some of the teachers of the law who were Pharisees(N) stood up and argued vigorously. “We find nothing wrong with this man,”(O) they said. “What if a spirit or an angel has spoken to him?”(P) 10 The dispute became so violent that the commander was afraid Paul would be torn to pieces by them. He ordered the troops to go down and take him away from them by force and bring him into the barracks.(Q)

11 The following night the Lord stood near Paul and said, “Take courage!(R) As you have testified about me in Jerusalem, so you must also testify in Rome.”(S)

The Plot to Kill Paul

12 The next morning some Jews formed a conspiracy(T) and bound themselves with an oath not to eat or drink until they had killed Paul.(U) 13 More than forty men were involved in this plot. 14 They went to the chief priests and the elders and said, “We have taken a solemn oath not to eat anything until we have killed Paul.(V) 15 Now then, you and the Sanhedrin(W) petition the commander to bring him before you on the pretext of wanting more accurate information about his case. We are ready to kill him before he gets here.”

16 But when the son of Paul’s sister heard of this plot, he went into the barracks(X) and told Paul.

17 Then Paul called one of the centurions and said, “Take this young man to the commander; he has something to tell him.” 18 So he took him to the commander.

The centurion said, “Paul, the prisoner,(Y) sent for me and asked me to bring this young man to you because he has something to tell you.”

19 The commander took the young man by the hand, drew him aside and asked, “What is it you want to tell me?”

20 He said: “Some Jews have agreed to ask you to bring Paul before the Sanhedrin(Z) tomorrow on the pretext of wanting more accurate information about him.(AA) 21 Don’t give in to them, because more than forty(AB) of them are waiting in ambush for him. They have taken an oath not to eat or drink until they have killed him.(AC) They are ready now, waiting for your consent to their request.”

22 The commander dismissed the young man with this warning: “Don’t tell anyone that you have reported this to me.”

Paul Transferred to Caesarea

23 Then he called two of his centurions and ordered them, “Get ready a detachment of two hundred soldiers, seventy horsemen and two hundred spearmen[b] to go to Caesarea(AD) at nine tonight.(AE) 24 Provide horses for Paul so that he may be taken safely to Governor Felix.”(AF)

25 He wrote a letter as follows:

26 Claudius Lysias,

To His Excellency,(AG) Governor Felix:

Greetings.(AH)

27 This man was seized by the Jews and they were about to kill him,(AI) but I came with my troops and rescued him,(AJ) for I had learned that he is a Roman citizen.(AK) 28 I wanted to know why they were accusing him, so I brought him to their Sanhedrin.(AL) 29 I found that the accusation had to do with questions about their law,(AM) but there was no charge against him(AN) that deserved death or imprisonment. 30 When I was informed(AO) of a plot(AP) to be carried out against the man, I sent him to you at once. I also ordered his accusers(AQ) to present to you their case against him.

31 So the soldiers, carrying out their orders, took Paul with them during the night and brought him as far as Antipatris. 32 The next day they let the cavalry(AR) go on with him, while they returned to the barracks.(AS) 33 When the cavalry(AT) arrived in Caesarea,(AU) they delivered the letter to the governor(AV) and handed Paul over to him. 34 The governor read the letter and asked what province he was from. Learning that he was from Cilicia,(AW) 35 he said, “I will hear your case when your accusers(AX) get here.” Then he ordered that Paul be kept under guard(AY) in Herod’s palace.

Footnotes

  1. Acts 23:5 Exodus 22:28
  2. Acts 23:23 The meaning of the Greek for this word is uncertain.