Add parallel Print Page Options

28 (A)nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.”

Read full chapter

19 “Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya. 20 (A)Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi. 21 (B)Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”

Read full chapter

18 (A)Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa.

Read full chapter

19 (A)Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda.

Read full chapter

14 (A)Era twamuwulira ng’agamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino n’obulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”

Read full chapter