Add parallel Print Page Options

17 (A)“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,
    bw’ayogera Katonda,
ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa,
    n’abakadde baliroota ebirooto.
18 (B)Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,
    ku baweereza bange abasajja n’abakazi;
    baliwa obunnabbi.
19 Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,
    n’obubonero ku nsi wansi,
    omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.
20 (C)Enjuba erifuuka ekizikiza,
    n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,
    olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.
21 (D)Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,
    alirokolebwa.’ 

Read full chapter

13 (A)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Read full chapter

13 (A)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
    tebuli wala.
    N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
    ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Read full chapter

17 (A)Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,
    kubanga lutukuvu,
n’ennyumba ya Yakobo
    eritwala omugabo gwabwe.

Read full chapter

11 (A)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[a] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:11 Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka.

(A)Abalema ndibafuula abalonde,
    n’abo be nagoba, mbafuule eggwanga ery’amaanyi.
Mukama alibafugira mu Lusozi Sayuuni
    okuva ku lunaku olwo okutuusa emirembe gyonna.

Read full chapter

27 (A)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
    ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.

Read full chapter