Add parallel Print Page Options

29 (A)Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30 Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 31 (B)Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.

32 (C)Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 33 (D)Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 34 (E)Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 35 (F)Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 36 (G)Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.

Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 37 (H)Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 38 (I)Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga,

Read full chapter

19 (A)Amangwago ng’agaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro.

Read full chapter