Add parallel Print Page Options

(A)Abakulembeze b’Abafirisuuti[a] ne bagenda gy’ali ne bamugamba nti, “Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi[b].”

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:5 Abafirisuuti baabeeranga mu bibuga bitaano, buli kimu nga kirina omukulembeze waakyo.
  2. 16:5 ze kilo nga kkumi na ssatu

26 (A)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

Read full chapter

(A)Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.”

Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.

Read full chapter