Add parallel Print Page Options

(A)Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.

Read full chapter

10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

Read full chapter

144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna.

Read full chapter

(A)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja.

Read full chapter