Add parallel Print Page Options

(A)Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.

Read full chapter

(A)Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda ow’Eggye alikukyalira
    mu kubwatuuka ne mu musisi,
ne mu ddoboozi ery’omwanguka,
    ne mu kibuyaga ne mu nnimi z’omuliro omukambwe oguzikiriza.

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 (B)Omuliro n’ekitala
    Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
    n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

Read full chapter

27 (A)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.

Read full chapter

Endiga n’Embuzi

31 (A)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye.

Read full chapter