Abaruumi 14:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. 7 (B)Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe.
Read full chapter
1 Abakkolinso 10:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.
Read full chapter
Nekkemiya 8:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”
Read full chapter
Zekkaliya 9:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Naye ndirwanirira ennyumba yange
eri eggye eddumbaganyi,
so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange
kubanga kaakano mbalabirira.
Ezeekyeri 44:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.