Add parallel Print Page Options

Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu

(A)Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. (B)Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. (C)Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, (D)ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. (E)Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. (F)Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. (G)Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. (H)Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 10 (I)Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 12 (J)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (K)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (L)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (M)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (N)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20 (O)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (P)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Made Alive in Christ

As for you, you were dead in your transgressions and sins,(A) in which you used to live(B) when you followed the ways of this world(C) and of the ruler of the kingdom of the air,(D) the spirit who is now at work in those who are disobedient.(E) All of us also lived among them at one time,(F) gratifying the cravings of our flesh[a](G) and following its desires and thoughts. Like the rest, we were by nature deserving of wrath. But because of his great love for us,(H) God, who is rich in mercy, made us alive with Christ even when we were dead in transgressions(I)—it is by grace you have been saved.(J) And God raised us up with Christ(K) and seated us with him(L) in the heavenly realms(M) in Christ Jesus, in order that in the coming ages he might show the incomparable riches of his grace,(N) expressed in his kindness(O) to us in Christ Jesus. For it is by grace(P) you have been saved,(Q) through faith(R)—and this is not from yourselves, it is the gift of God— not by works,(S) so that no one can boast.(T) 10 For we are God’s handiwork,(U) created(V) in Christ Jesus to do good works,(W) which God prepared in advance for us to do.

Jew and Gentile Reconciled Through Christ

11 Therefore, remember that formerly(X) you who are Gentiles by birth and called “uncircumcised” by those who call themselves “the circumcision” (which is done in the body by human hands)(Y) 12 remember that at that time you were separate from Christ, excluded from citizenship in Israel and foreigners(Z) to the covenants of the promise,(AA) without hope(AB) and without God in the world. 13 But now in Christ Jesus you who once(AC) were far away have been brought near(AD) by the blood of Christ.(AE)

14 For he himself is our peace,(AF) who has made the two groups one(AG) and has destroyed the barrier, the dividing wall of hostility, 15 by setting aside in his flesh(AH) the law with its commands and regulations.(AI) His purpose was to create in himself one(AJ) new humanity out of the two, thus making peace, 16 and in one body to reconcile both of them to God through the cross,(AK) by which he put to death their hostility. 17 He came and preached peace(AL) to you who were far away and peace to those who were near.(AM) 18 For through him we both have access(AN) to the Father(AO) by one Spirit.(AP)

19 Consequently, you are no longer foreigners and strangers,(AQ) but fellow citizens(AR) with God’s people and also members of his household,(AS) 20 built(AT) on the foundation(AU) of the apostles and prophets,(AV) with Christ Jesus himself(AW) as the chief cornerstone.(AX) 21 In him the whole building is joined together and rises to become a holy temple(AY) in the Lord. 22 And in him you too are being built together to become a dwelling in which God lives by his Spirit.(AZ)

Footnotes

  1. Ephesians 2:3 In contexts like this, the Greek word for flesh (sarx) refers to the sinful state of human beings, often presented as a power in opposition to the Spirit.