Add parallel Print Page Options

13 (A)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (B)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

Read full chapter

34 (A)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
    oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
    okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
    bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

Read full chapter

18 (A)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
    asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
    abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
    naye asanyukira okusaasira.

Read full chapter

13 (A)“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

Read full chapter