2 Samwiri 1:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
Read full chapter
Yeremiya 6:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
Okubikkulirwa 18:18-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ 19 (B)Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
Kyabagaggawaza bonna
abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.