2 Ebyomumirembe 35:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 9:10-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 Ku bakabona abaakomawo kwaliko
Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 (A)ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
1 Ebyomumirembe 24:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:
Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 8:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
Read full chapter
Ezera 6:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ne bateeka bakabona mu bibinja byabwe n’Abaleevi mu biti byabwe olw’okuweereza Katonda e Yerusaalemi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.