Add parallel Print Page Options

19 (A)Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”

Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 (B)Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”

Read full chapter