2 Ebyomumirembe 29:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 24:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:
Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 15:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”
Read full chapter
Zabbuli 7:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Zabbuli 9:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Zabbuli 47:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Footnotes
- 47:6 Okutenderezebwa kwakolebwanga ne Siyofa, ejjembe eryafuuyibwanga okulangirira Omwaka Omuggya
Zabbuli 71:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
1 Ebyomumirembe 23:28-32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda. 29 (B)Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo. 30 (C)Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi, 31 (D)ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
32 (E)Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.