Add parallel Print Page Options

34 (A)Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona.

Read full chapter

Omuwendo gw’Abaleevi n’Emirimu gyabwe

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Leeta ab’omu kika kya Leevi[a] obakwase Alooni kabona bamuweerezenga. (B)Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza n’ekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama. Banaalabiriranga ebintu byonna eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gy’omu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri. (C)Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri. 10 (D)Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna n’asembera awatukuvu, anaafanga.”

11 Mukama Katonda n’ayongera okugamba Musa nti, 12 (E)“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo ky’abaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange, 13 (F)kubanga byonna ebizaalibwa ebibereberye byange. Bwe natta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri neeyawulira ebibereberye byonna mu Isirayiri okubeeranga ebyange, abantu n’ebisolo. Nze Mukama Katonda.”

14 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa mu ddungu ly’e Sinaayi nti, 15 (G)“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe[b]. Bala buli mwana mulenzi ow’omwezi ogumu n’okusingawo.” 16 Bw’atyo Musa n’ababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.

17 (H)Gano ge mannya ga batabani ba Leevi:

Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali.

18 (I)Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe bwe zaali:

Libuni ne Simeeyi.

19 (J)Bano be batabani ba Kokasi ng’empya zaabwe bwe zaali:

Amulaamu, ne Izukali ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.

20 (K)Bano be batabani ba Merali ng’empya zaabwe bwe zaali:

Makuli ne Musi.

Ebyo bye bika by’Abaleevi ng’empya za bakitaabwe bwe zaali.

21 (L)Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni n’oluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga z’empya za Abagerusoni.

22 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).

23 Ab’omu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olw’ebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.

24 Omukulembeze w’empya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.

25 (M)Abagerusoni be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako n’eggigi ery’omu mulyango oguyingira mu Weema, 26 (N)n’entimbe ez’omu luggya, n’entimbe ez’omu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema n’ekyoto. Era banaalabiriranga n’emiguwa awamu n’ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.

27 (O)Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, n’oluggya lwa Abayizukaali, n’oluggya lwa Abakebbulooni, n’oluggya lwa Abawuziyeeri; ezo z’empya za Abakokasi.

28 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga[c] (8,600).

Abakokasi be baweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga awatukuvu.

29 (P)Ab’omu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olw’obukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

30 Omukulembeze w’empya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.

31 (Q)Abakokasi be baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko ey’Endagaano, n’emmeeza, n’ekikondo ky’ettaala, n’ebyoto, n’ebintu eby’omu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, n’eggigi; n’emirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.

32 Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu w’abakulembeze ba Abaleevi, era n’okulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.

33 (R)Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli n’oluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.

34 Abaana aboobulenzi okuva ku w’omwezi ogumu n’okusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).

35 (S)Omukulembeze w’empya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri;

Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.

36 (T)Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, n’empagi, n’ebikondo, n’ebikwata ku Weema ya Mukama byonna n’ebyekuusa ku mirimu gyayo. 37 Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya n’entobo zaazo, n’enkondo za Weema n’emiguwa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:6 Kika kya Leevi baawukanira ddala ku bakabona, abaali bazzukulu ba Alooni. Abaleevi baayambanga bakabona.
  2. 3:15 Abaleevi tebaawandikibwanga kulwana mu magye, era kyebaava batabalibwa oluvannyuma lw’emyaka amakumi abiri egy’obukulu. Ekya babazanga, kwe kumanya abaana baabwe ababereberye (3:40-43).
  3. 3:28 ebiwandiiko ebirala bigamba kanaana mu bisatu

(A)Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza?

Read full chapter

12 (A)Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 (B)Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.

14 (C)Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.

Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.

15 (D)Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.

16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.

Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.

17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,

ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku

ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,

ne ku ggwanika babiri babiri.

18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.

19 (E)Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.

Read full chapter