Add parallel Print Page Options

20 (A)Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.”

Read full chapter

(A)“Kubanga abantu bano bagaanye
    amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola,[a]
ne bajaguza olwa Lezini
    ne mutabani wa Lemaliya,
(B)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
    amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
    ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
    ne ganjaala ku ttale lyonna.
(C)Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
    galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
    ggwe Emmanweri.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:6 Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (2By 32:4-30) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi

12 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,
    ne mwesiga okunyigirizibwa,
    ne mwesiga omulimba,
13 (B)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
    alimu enjatika era azimbye,
    okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (C)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
    n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
    okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
    oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

Read full chapter