Add parallel Print Page Options

10 (A)N’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka.

Read full chapter

34 (A)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (B)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi.

Read full chapter