Add parallel Print Page Options

Mutabani w’Omusunammu Azuukizibwa

(A)Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere. Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano. 10 (B)Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”

11 Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo. 12 (C)N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge. 13 Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ”

N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”

14 Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.” 15 Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. 16 (D)Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.”

Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”

17 Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.

18 (E)Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi. 19 N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!”

Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”

20 Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa. 21 (F)Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.

22 N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”

23 (G)N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.” 24 Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.” 25 (H)Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri[a]. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli! 26 Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”

Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”

27 (I)Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.” 28 Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?” 29 (J)Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.” 30 Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera. 31 Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”

32 (K)Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. 33 (L)N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama. 34 (M)N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. 35 (N)Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.

36 (O)Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.” 37 Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:25 Olusozi Kalumeeri lwali nga kilomita amakumi asatu okuva e Sunamu.

26 (A)Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga.

Read full chapter

22 (A)Mukama alikulwaza akafuba, n’omusujja n’okubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, n’ekyeya, n’ekitala, n’okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw’olizikirira.

Read full chapter

Nawomi ne Luusi

(A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu.

Read full chapter

Ibulaamu Agenda e Misiri

10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[a] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:10 Misiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe.

16 (A)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.

Read full chapter

11 (A)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”

Read full chapter