Add parallel Print Page Options

12 (A)Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda, ne nnyina, n’abaddu ba kabaka, n’abakungu be, n’abaami be bonna ne beewaayo eri kabaka w’e Babulooni mu mwaka gwe ogw’omunaana bukya alya bwakabaka, era Yekoyakini n’atwalibwa nga musibe.

Read full chapter

24 (A)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (B)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (C)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (D)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?

Read full chapter