Add parallel Print Page Options

(A)Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu. Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera. (B)Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu. (C)Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse[a] e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:6 Guno mulundi gwakubiri ng’Abayisirayiri mu bukiikakkono batwalibwa mu buwaŋŋanguse (laba 15:29)

14 (A)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.

Read full chapter

21 (A)“Muteeke ebipande ku nguudo;
    muteekeeko ebipande.
Mwetegereze ekkubo eddene,
    ekkubo mwe muyita.
Komawo ggwe Omuwala Isirayiri,
    komawo mu bibuga byo.

Read full chapter

22 (A)Olituusa ddi okudda eno n’eri,
    ggwe omuwala atali mwesigwa?
Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi,
    omukazi aliwa omusajja obukuumi.”

Read full chapter

11 (A)Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’

Read full chapter

15 (A)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.

Read full chapter