Add parallel Print Page Options

15 (A)Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu[a] ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?”

Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:15 Abalekabu bazzukulu ba Lekabu, ate era bazzukulu ba Yesero; baawangaala okutuusa mu biro bya Yeremiya (Yer 35:6, 8). Baanyiikira nnyo okusinza Mukama ate nga balunzi

(A)“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja.

Read full chapter

(A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti[a], (B)anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo

15 (A)Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina.

Read full chapter