Add parallel Print Page Options

16 (A)Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.” 17 (B)N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali.

Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda.

Read full chapter

(A)Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, (B)naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. (C)Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. (D)Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.

Read full chapter

Asa kabaka wa Yuda

Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we.

Read full chapter