Add parallel Print Page Options

16 (A)Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.”

Read full chapter

22 (A)Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”

Read full chapter

(A)Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, “Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo.”

Read full chapter

(A)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.

Read full chapter

29 (A)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
    kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
    n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.

Read full chapter

25 (A)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.

Read full chapter

(A)Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.”

Read full chapter

Kazayeeri Atta Benikadadi

(A)Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,” (B)n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”

Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko[a], ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’ ” 10 (C)Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:9 Ddamasiko kyali kibuga kikulu nga kya byamaguzi nga kisangibwa wakati wa Misiri, Asiya ne Mesopotamiya.