1 Samwiri 26:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Dawudi Agaana Omulundi Ogwokubiri Okutta Sawulo
26 (A)Awo ab’e Zifu ne bagenda eri Sawulo e Gibea ne bamugamba nti, “Olowooza nga Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira, ku luuyi olw’ebuvanjuba olwolekera eddungu Yesimoni?”
Read full chapter
Zabbuli 54
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”
54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 (B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 (C)Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.
4 (D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
5 (E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.
1 Samwiri 26:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Sawulo n’asiisira ku mabbali g’ekkubo ku lusozi Kakira okwolekera eddungu, naye Dawudi n’asigala mu ddungu. Awo bwe yalaba Sawulo ng’amugoberedde mu ddungu,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.