Add parallel Print Page Options

Okufa Kwa Eri

12 (A)Olunaku lwe lumu ne wabaawo omusajja Omubenyamini eyava mu lutalo n’adduka okutuuka e Siiro, ng’ayuzizza engoye ze n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.

Read full chapter

15 (A)Abaseba[a] ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”

16 (B)Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”

17 (C)N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya[b] bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”

18 Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe, 19 (D)laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:15 Abaseba baali balunzi abaatambulanga okuva mu kifo ekimu nga balaga mu kirala, nga babeera mu bukiikaddyo bwa Buwalabu.
  2. 1:17 Abakaludaaya baali batambuze mu ddungu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga babeera mu Mesopotamiya. Oluvannyuma baasalawo okubeera mu kifo kimu ne bassaawo Obwakabaka bw’e Babulooni.