1 Samwiri 24:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Lwaki owuliriza eŋŋambo z’abantu aboogera nti, ‘Dawudi amaliridde okukukola akabi?’
Read full chapter
1 Samwiri 24:11-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kitange laba, akatundu ke naggye ku kirenge ky’ekyambalo kyo. Nasaze busazi ku kyambalo kyo naye ne sikutta. Kaakano kitegeere era okimanye nga sikusobyanga newaakubadde okukujeemera. Sinnakusobya newaakubadde ng’onjigganya okunzita. 12 (B)Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe. 13 (C)Ng’olugero olw’ab’edda bwe baalugera nti, ‘Mu babi mwe muva akabi,’ kyendiva sikuyimusiza mukono gwange. 14 (D)Kabaka wa Isirayiri ajjiridde ani? Ani gw’oyigganya? Mbwa nfu oba nkukunyi?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.