Add parallel Print Page Options

Dawudi ng’ali e Nobu

21 (A)Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?” Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana. Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”

(B)Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.” (C)Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?” (D)Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.

(E)Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa. Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.” (F)Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.”

Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”

Dawudi Addukira e Gaasi

10 (G)Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi. 11 (H)Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti,

“ ‘Sawulo asse enkumi ze
    ne Dawudi emitwalo gye?’ ”

12 Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi. 13 (I)Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.

14 Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde? 15 Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”

David at Nob

21 [a]David went to Nob,(A) to Ahimelek the priest. Ahimelek trembled(B) when he met him, and asked, “Why are you alone? Why is no one with you?”

David answered Ahimelek the priest, “The king sent me on a mission and said to me, ‘No one is to know anything about the mission I am sending you on.’ As for my men, I have told them to meet me at a certain place. Now then, what do you have on hand? Give me five loaves of bread, or whatever you can find.”

But the priest answered David, “I don’t have any ordinary bread(C) on hand; however, there is some consecrated(D) bread here—provided the men have kept(E) themselves from women.”

David replied, “Indeed women have been kept from us, as usual(F) whenever[b] I set out. The men’s bodies are holy(G) even on missions that are not holy. How much more so today!” So the priest gave him the consecrated bread,(H) since there was no bread there except the bread of the Presence that had been removed from before the Lord and replaced by hot bread on the day it was taken away.

Now one of Saul’s servants was there that day, detained before the Lord; he was Doeg(I) the Edomite,(J) Saul’s chief shepherd.

David asked Ahimelek, “Don’t you have a spear or a sword here? I haven’t brought my sword or any other weapon, because the king’s mission was urgent.”

The priest replied, “The sword(K) of Goliath(L) the Philistine, whom you killed in the Valley of Elah,(M) is here; it is wrapped in a cloth behind the ephod. If you want it, take it; there is no sword here but that one.”

David said, “There is none like it; give it to me.”

David at Gath

10 That day David fled from Saul and went(N) to Achish king of Gath. 11 But the servants of Achish said to him, “Isn’t this David, the king of the land? Isn’t he the one they sing about in their dances:

“‘Saul has slain his thousands,
    and David his tens of thousands’?”(O)

12 David took these words to heart and was very much afraid of Achish king of Gath. 13 So he pretended to be insane(P) in their presence; and while he was in their hands he acted like a madman, making marks on the doors of the gate and letting saliva run down his beard.

14 Achish said to his servants, “Look at the man! He is insane! Why bring him to me? 15 Am I so short of madmen that you have to bring this fellow here to carry on like this in front of me? Must this man come into my house?”

Footnotes

  1. 1 Samuel 21:1 In Hebrew texts 21:1-15 is numbered 21:2-16.
  2. 1 Samuel 21:5 Or from us in the past few days since