Add parallel Print Page Options

Ebyalangibwa ku Nnyumba ya Eri

27 (A)Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda eyajja eri Eri, n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Sseeraga bulungi eri ennyumba ya jjajjaawo mu Misiri bwe baali bafugibwa Falaawo? 28 (B)Nalonda jjajjaawo okuva mu bika byonna ebya Isirayiri okuba kabona wange, okwambukanga ku kyoto kyange, okwoterezangako obubaane, n’okwambalanga ekkanzu ey’obwakabona eya bafuta mu maaso gange. Era ne mpa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna ebyokebwa Abayisirayiri. 29 (C)Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’

30 (D)Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 (E)Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde, 32 (F)olyoke olabire ennaku mu nnyumba yange. Newaakubadde Isirayiri erifuna omukisa, tewalibaawo n’omu ku b’omu nnyumba yo aliwangaala n’akaddiwa. 33 Omuntu yekka ku bantu bo gwe siizikirize, gwe ndikkiriza okumpeereza ku kyoto kyange, alisigalawo kukulabya nnaku, na kukunakuwaza mu mutima, na kukukaabya maziga; era bazzukulu bo bonna banaafanga nga kyebajje bavubuke.’

34 (G)“ ‘Ekirituuka ku batabani bo, Kofuni ne Finekaasi, ke kaliba akabonero gy’oli era bombi balifa ku lunaku lumu. 35 (H)Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange. Ndinywereza ddala ennyumba ye, era aliweerezanga ennaku zonna mu maaso g’oyo gwe ndifukako amafuta. 36 (I)Era buli aliba asigaddewo ku b’omu nnyumba yo alijja n’amuvuunamira ng’amusaba ekitundu kya ffeeza n’omugaati ng’ayogera nti, “Nkwegayiridde nnonda okuba omu ku bakabona, nsobole okufuna ekyokulya.” ’ ”

Read full chapter

Prophecy Against the House of Eli

27 Now a man of God(A) came to Eli and said to him, “This is what the Lord says: ‘Did I not clearly reveal myself to your ancestor’s family when they were in Egypt under Pharaoh? 28 I chose(B) your ancestor out of all the tribes of Israel to be my priest, to go up to my altar, to burn incense,(C) and to wear an ephod(D) in my presence. I also gave your ancestor’s family all the food offerings(E) presented by the Israelites. 29 Why do you[a] scorn my sacrifice and offering(F) that I prescribed for my dwelling?(G) Why do you honor your sons more than me by fattening yourselves on the choice parts of every offering made by my people Israel?’

30 “Therefore the Lord, the God of Israel, declares: ‘I promised that members of your family would minister before me forever.(H)’ But now the Lord declares: ‘Far be it from me! Those who honor me I will honor,(I) but those who despise(J) me will be disdained.(K) 31 The time is coming when I will cut short your strength and the strength of your priestly house, so that no one in it will reach old age,(L) 32 and you will see distress(M) in my dwelling. Although good will be done to Israel, no one in your family line will ever reach old age.(N) 33 Every one of you that I do not cut off from serving at my altar I will spare only to destroy your sight and sap your strength, and all your descendants(O) will die in the prime of life.

34 “‘And what happens to your two sons, Hophni and Phinehas, will be a sign(P) to you—they will both die(Q) on the same day.(R) 35 I will raise up for myself a faithful priest,(S) who will do according to what is in my heart and mind. I will firmly establish his priestly house, and they will minister before my anointed(T) one always. 36 Then everyone left in your family line will come and bow down before him for a piece of silver and a loaf of bread and plead,(U) “Appoint me to some priestly office so I can have food to eat.(V)”’”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1 Samuel 2:29 The Hebrew is plural.