Add parallel Print Page Options

Batabani ba Eri

12 (A)Batabani ba Eri baali basajja ba mpisa mbi, nga tebatya Mukama Katonda.

Read full chapter

17 (A)Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.

Read full chapter

22 (A)Awo Eri eyali akaddiye ennyo, n’awulira ebyo byonna batabani be bye baakolanga Abayisirayiri bonna, ne bwe beetabanga n’abakyala abaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Read full chapter

29 (A)Lwaki munyooma ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange bye nalagira, okuweebwangayo mu yeekaalu yange? Lwaki ossaamu batabani bo ekitiibwa okunsinga, nga mweddiza ebitundu ebisinga obusava ku buli kiweebwayo abantu bange, Isirayiri, kye bawaayo?’

30 (B)Mukama Katonda wa Isirayiri kyava ayogera nti, ‘Nasuubiza nti ennyumba yo n’ennyumba ya jjajjaawo be banaaweerezanga mu maaso gange ennaku zonna;’ naye kaakano Mukama agamba nti, ‘Kikafuuwe! Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abonnyooma banaaswazibwanga. 31 (C)Laba ekiseera kijja lwe ndikumalamu amaanyi era n’ennyumba ya jjajjaawo nayo ne ngimalamu amaanyi, waleme okubaawo n’omu aliwangaala okutuuka mu bukadde,

Read full chapter