Add parallel Print Page Options

16 (A)Abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea mu Benyamini ne balaba ng’ekibinja kisaasaana okuddukira mu njuyi zonna.

Read full chapter

(A)Awo kabaka n’agolokoka, n’addira entebe ye n’agiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gy’ali.

Dawudi Addayo e Yerusaalemi

Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe.

Read full chapter

17 (A)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”

Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”

Read full chapter

12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
    Mwongereko abakuumi,
muteekeko abaserikale,
    mutegeke okulumba mbagirawo!
Mukama alituukiriza ekigendererwa bye,
    ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni.

Read full chapter